Genesis 26:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yizaake n'azibukula enzizi ezaali zisimiddwa mu budde bwa kitaawe Yiburayimu, Abafilisitiini ze baali bazibye nga kitaawe amaze okufa, n'aziyita amannya ge gamu kitaawe ge yali azituumye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Isaaka n’azibukula enzizi ezaali zisimiddwa mu biseera bya Ibulayimu kitaawe, kubanga Abafirisuuti baziziba Ibulayimu bwe yamala okufa. Era ye Isaaka n’aziyita amannya gali kitaawe ge yali azituumye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Isaaka n'ayerula enzizi z'amazzi, ze baasimira mu nnaku za Ibulayimu kitaawe; kubanga Abafirisuuti baaziziba Ibulayimu bwe yamala okufa; n'aziyita amannya gaazo ng'amannya bwe gaali kitaawe ge yazituuma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ayerula enzizi ezaali zisimiddwa, nga Aburahamu akyali mulamu, Abafilistiya ze baaziba nga Aburahamu amaze okufa. Yisaaka n'aziyita amannya ago gennyini, kitaawe ge yazituuma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Isaaka n'ayerula enzizi z'amazzi, ze baasimira mu nnaku za Ibulayimu kitaawe; kubanga Abafrrisuuti baaziziba Ibulayimu bwe yamala okufa: n'aziyita amannya gaazo ag'amannya bwe gaali kitaawe ge yazituuma.