Genesis 26:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye abalunzi b'e Gerari ne bayombagana n'abalunzi ba Yizaake nga bagamba nti: “Amazzi gaffe.” Oluzzi kyeyava alutuuma Eseki, kubanga baamuyombesa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abasumba b’omu Gerali ne bayomba n’abasumba ba Isaaka nga bagamba nti, “Amazzi gaffe.” Oluzzi olwo kyeyava alutuuma Eseki, kubanga baawakana naye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abasumba ab'e Gerali ne bakaayana n'abasumba ba Isaaka, nga boogera nti, “Amazzi gaffe.” Isaaka n'atuuma oluzzi olwo erinnya Eseki; kubanga baakaayana naye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasumba ab'e Gerari ne bakaayana n'abasumba ba Yisaaka, nga bagamba nti: “Amazzi gano gaffe.” Yisaaka n'atuuma oluzzi olwo erinnya Eseki, kubanga baakaayana naye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abasumba ab'e Gerali ne bawakanya abasumba ba Isaaka, nga boogera nti' Amazzi gaffe: n'atuuma oluzzi erinnya lyalwo Eseki; kubanga baawakana naye.