Genesis 26:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne basima n'oluzzi olulala era nalwo ne baluyomberako, n'alutuuma Situna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyebaava basima oluzzi olulala, era nalwo ne baluyombera, lwo kwe kuluyita Situna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne basima oluzzi olulala, era nalwo ne balukaayanira, ne balutuuma erinnya Situna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaweereza ba Yisaaka ne basima oluzzi olulala, era nalwo ne balukaayanira. N'alutuuma erinnya Situna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne basima oluzzi olulala, era a'olwo ne baluwakaaira: n'alutuuma erinnya lyalwo Situna.