Genesis 26:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ava awo, n'asima oluzzi olulala, olwo tebaaluyomberako; n'alutuuma Rekoboti, ng'agamba nti: “Kati Omukama atuwadde okwegaziya, kati tujja kweyongera mu nsi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’avaayo n’asima oluzzi olulala, olwo lwo ne bataluyombera, kyeyava alutuuma Lekobosi, ng’agamba nti, “Kubanga kaakano Mukama atuwadde ebbanga, era tujja kukulaakulanira muno.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'avaayo, n'asima oluzzi olulala; olwo ne batalukaayanira; n'alutuuma erinnya Lekobosi; n'ayogera nti, “Kubanga kaakano Mukama atugaziyizza, naffe tulyalira mu nsi eno.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ajjulukukayo, n'asima oluzzi olulala. Olwo lwo ne batalukaayanira, n'alutuuma erinnya Rehoboti. N'agamba nti: “Kaakano Mukama atugaziyizza, tujja kwala mu nsi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ajjulukuka okuvaayo, n'asima oluzzi olulala; n'olwo ne bataluwakanira; n'alutuuma erinnya lyalwo Lekobosi; n'ayogera nti Kubanga kaakano Mukama atugaziyizza, naffe tulyalira mu nsi.