Genesis 26:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyo Omukama gye yamulabikira mu kiro ekyo kyennyini ng'agamba nti: “Nze Katonda wa Yiburayimu kitaawo; totya, kubanga ndi naawe. Ndikuwa omukisa, n'ezzadde lyo ne ndyongera omuwendo olw'okubeera omuweereza wange Yiburayimu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekiro ekyo Mukama n’alabikira Isaaka, n’amugamba nti, “Nze Katonda wa Ibulayimu kitaawo, totya. Kubanga ndiwamu naawe, ndikuwa omukisa era ndyaza abaana bo ku lwa Ibulayimu omuddu wange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'amulabikira ekiro ekyo, n'ayogera nti, “Nze Katonda wa Ibulayimu kitaawo; totya, kubanga nze ndi wamu naawe era nnaakuwanga omukisa, era nnaayongeranga ezzadde lyo ku bw'omuddu wange Ibulayimu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'amulabikira ekiro ekyo, n'agamba nti: “Nze Katonda wa kitaawo Aburahamu. Totya, kubanga nze ndi wamu naawe, nnaakuwanga omukisa, era ndikuwa abazzukulu bangi, olw'omuweereza wange Aburahamu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'amulabikira ekiro ekyo, n'ayogera nti Nze Katonda wa Ibulayimu kitaawo: totya, kubanga nze ndi wamu naawe era naakuwanga omukisa, era naayongeranga ezzadde lyo ku bw'omuddu wange Ibulayimu.