Genesis 26:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'azimbayo eyo omwaliiro, n'akoowoola erinnya ly'Omukama, n'asimba awo weema; abaweereza be ne basimawo oluzzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’azimbawo ekyoto n’akoowoola erinnya lya Mukama, n’asimba eyo eweema ye. Era n’eyo abaddu be ne basimayo oluzzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'azimba eyo ekyoto, n'akoowoola erinnya lya Mukama, n'asimba eyo eweema ye; n'eyo abaddu ba Isaaka ne basimayo oluzzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yisaaka n'azimba eyo alutaari, n'asinza Mukama. N'asimbayo eweema ye, era abasajja be ne basimayo oluzzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'azimba ekyoto eyo, n'akoowoola erinnya lya Mukama, n'asimba eyo eweema ye: n'eyo abaddu ba Isaaka ne basimayo oluzzi.