Genesis 26:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yizaake n'ababuuza nti: “Kiki ekibaleese gye ndi sso nga mwankyawa n'okungoba ne mungoba?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Isaaka n’ababuuza nti, “Lwaki muzze gye ndi ng’ate mwankijjanya ne mungobaganya?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Isaaka n'abagamba nti, “Kiki ekibaleese gye ndi ng'ate mwankyawa, ne mungoba mu nsi yammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yisaaka n'ababuuza nti: “Kiki ekibaleese gye ndi, nga mwankyawa era nga mwangoba mu nsi yammwe?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Isaaka n'abagamba ati Kiki ekibaleese gye ndi, bwe muba nga munkyawa, era mwangoba gye muli?