Genesis 26:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne baanukula nti: “Tulabye ng'Omukama ali naawe, kyetuvudde tugamba nti: ‘Wabeerewo ekirayiro mu ffe, wakati waffe naawe, tukole endagaano
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamuddamu nti, “Tulabidde ddala nga Mukama ali naawe, kyetuva tugamba nti, ‘Wabeewo ekirayiro wakati wo naffe. Era tukole endagaano naawe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne boogera nti, “Tulabidde ddala nga Mukama ali wamu naawe, kye tuva tugamba nti wabeewo obweyamo wakati wo naffe, era tukole endagaano naawe nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne baddamu nti: “Tulabidde ddala nga Mukama ali naawe, kyetuva tugamba nti wabeewo obweyamo wakati wo naffe, era tukole endagaano naawe, nti
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne boogera nti Twalabira ddala nga Mukama ali naawe: ne twogera nti Wabeere nno ekirayiro gye tuli, wakati waffe naawe, era tulagaane endagaano naawe;