Genesis 26:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nti tolitukola kabi nga naffe bwe twakuyisa obulungi; twakusiibula mu ddembe, era kati Omukama akuwadde omukisa.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga tolitukola kabi, nga ffe bwe tutaakakukola era nga tetuliiko kye tukukoze, wabula ebirungi era nga twakusiibula mirembe.’ Kaakano gwe oli muntu Mukama gw’awadde omukisa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ggwe tootukolengako kabi, nga naffe bwe tutaakukolako kabi. Twakukolera eby'ekisa, ne tukuleka n'ogenda mirembe. Kaakano Mukama ggwe gw'awadde omukisa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ggwe tootukolengako kabi, nga naffe bwe tutaakukolako kabi. Twakukolera eby'ekisa, ne tukuleka n'ogenda mirembe. Kaakano Mukama ggwe gw'awadde omukisa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
obutatukolerangako kabi, nga ffe bwe tutakukwatangako, era nga bwe tutakukoleranga kantu wabula ebirungi, era ne tukusindika n'emirembe; kaakano ggwe oyo Mukama gw'awa omukisa.