Genesis 26:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Beerayo akabanga; nzija kubeera naawe, nzija kukuwa n'omukisa, kubanga ggwe n'ezzadde lyo ndibawa ebitundu by'ensi bino byonna, ntuukirize ekirayiro kye nalayirira Yiburayimu kitaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Beera mu nsi gye ndikulaga, nnaabeeranga naawe, n’akuwanga omukisa kubanga gwe n’abaana bo ndibawa ensi zino zonna, era ndituukiriza ekirayiro kye nalayirira kitaawo Ibulayimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
beera mu nsi eno, nange nnaabeeranga wamu naawe, era nnaakuwanga omukisa; kubanga ggwe n'ezzadde lyo ndibawa mmwe ensi zino zonna, era naanywezanga ekirayiro kye nnalayirira Ibulayimu kitaawo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Beera mu nsi eno, nange nnaabeeranga wamu naawe, era nnaakuwanga omukisa. Ndikuwa ggwe ne bazzukulu bo, ebitundu bino byonna eby'ensi. Nnaatuukirizanga ekirayiro, kye nalayirira kitaawo Aburahamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
beera mu nsi eno, nange naabeeranga wamu naawe, era naakuwanga omukisa; kubanga ggwe n'ezzadde lyo ndibawa mmwe ensi zino zonna, era naanywezanga ekirayiro kye nnalayirira Ibulayimu kitaawo;