Genesis 26:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baazuukuka ku makya buli omu n'alayirira munne. Awo Yizaake n'abasiibula, ne bamuvaako mirembe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku makya ennyo ne bagolokoka ne balayiriragana, Isaaka n’abawerekerako ne bava gy’ali mirembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bagolokoka enkya mu makya, ne bakola endagaano; Isaaka n'abasiibula, ne baawukana mirembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bagolokoka enkeera mu makya, ne bakola obweyamo ku buli ludda. Yisaaka n'abasiibula, ne baawukana naye mirembe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bagolokoka enkya mu makya, ne balayiragana: Isaaka n'abasiibula, ne bamuvaako n'emirembe.