Genesis 26:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olwo lwennyini abaweereza ba Yizaake ne bajja ne bamubuulira eby'oluzzi lwe baali basimye nga bagamba nti: “Tuzudde amazzi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwo lwennyini, abaddu ba Isaaka ne bajja ne bamutegeeza eby’oluzzi lwe baasima, ne bamugamba nti, “Tuzudde amazzi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka ku lunaku olwo, abaddu ba Isaaka ne bajja, ne bamubuulira ku luzzi lwe baali basimye, ne bamugamba nti, “ Tuzudde amazzi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwo, abasajja ba Yisaaka ne bajja ne bamubuulira ku luzzi lwe baali basimye, ne bagamba nti: “Tuzudde amazzi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka ku lunaku olwo, abaddu ba Isaaka ne bajja, ne bamubuulira ku luzzi lwe baali basimye, ne bamugamba ati Tulabye amazzi.