Genesis 26:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ezawu yali aweza emyaka amakumi ana n'awasa Yudita, muwala wa Beeri Omukitti, ne Basimati, muwala wa Eloni Omukitti.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Esawu bwe yaweza emyaka amakumi ana egy’obukulu, n’awasa Yudisi muwala wa Beeri Omukiiti, ne Besimansi muwala wa Eroni naye Omukiiti.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Esawu bwe yali nga ng'awezezza emyaka ana (40) n'awasa Yudisi omwana wa Beeri Omukiiti, ne Basimansi omwana wa Eromi Omukiiti:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Esawu bwe yaweza emyaka amakumi ana, n'awasa Yudita muwala wa Beeri Omuhiiti. N'awasa ne Basemati muwala wa Eloni era Omuhiiti,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Esawu bwe yali nga yaakamaze emyaka ana n'awasa Yudisi omwana wa Beeri Omukiiti, ne Basimansi omwana wa Eromi Omukiiti: