Genesis 26:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ezzadde lyo nzija kuliwa lyale okwenkana emmunyeenye z'eggulu, ne bazzukulu bo ndibawa ebitundu bino byonna, n'amawanga gonna ag'ensi mu zzadde lyo galiweebwa omukisa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndyaza abaana b’enda yo ne baba ng’emmunyeenye ez’eggulu, era ndibawa n’ensi zino zonna. Era mu bo amawanga gonna ag’oku nsi mwe galiweerwa omukisa;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era nnaayazanga ezzadde lyo ng'emmunyeenye ez'omu ggulu, era ndiwa ezzadde lyo ensi zino zonna; ne mu zzadde lyo amawanga gonna ag'omu nsi mwe galiweerwa omukisa;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndikuwa abazzukulu bangi ng'emmunyeenye ez'oku ggulu era ndibawa ebitundu bino byonna eby'ensi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era naayazanga ezzadde lyo ng'emmunyeenye ez'omu ggulu, era ndiwa ezzadde lyo ensi zino zonna; ne mu zzadde lyo amawanga gonna ag'omu nsi mwe galiweerwa omukisa;