Genesis 26:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja b'eyo bwe baamubuuza ku mukazi we, yayanukula nti: “Mwannyinaze.” Kubanga yali atidde okwatula nti: “Mukazi wange,” ng'alowooza nti: “Bayinza okunzita olwa mukazi wange kubanga mulungi mu ndabika.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abasajja ab’omu nsi omwo bwe baamubuuza ku mukazi we n’abaddamu nti, “Mwannyinaze.” Kubanga yatya okwogera nti, “Mukazi wange,” ng’alowooza nti, “Abasajja ab’omu nsi omwo tebalwa kunzita lwa Lebbeeka,” kubanga yali mulungi nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
abasajja baayo ne bamubuuza ku mukazi we; n'ayogera nti, “Ye mwannyinaze,” kubanga yatya okwogera nti, “Mukazi wange;” abasajja baayo baleme okumutta olwa Lebbeeka mukazi we, kubanga yali mulungi nnyo mu ndabika ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasajja baayo bwe baamubuuza ku mukazi we, n'agamba nti mwannyina, kubanga yatya okwogera nti mukazi we, abasajja baayo baleme okumutta olwa Rebbeeka, eyali omulungi ennyo mu ndabika ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abasajja baayo ne bamubuuza ku mukazi we; n'ayogera nti Ye mwannyinaze: kubanga yatya okwogera nti Mukazi wange; abasajja baawo baleme okunzita olwa Lebbeeka: kubanga yali mulungi okulaba.