Genesis 26:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebbanga ng'amazeeyo eriwera, olumu Abimeleki kabaka w'Abafilisitiini aba atunudde ebweru wansi ng'ayima mu ddirisa, n'alaba Yizaake ng'azanyiikiriza Rebekka mukazi we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yamalayo ekiseera ekiwanvu, Abimereki, kabaka w’Abafirisuuti n’atunula mu ddirisa, n’alaba Isaaka ng’azannya ne Lebbeeka mukazi we.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka, bwe yali yaakamalayo ebiro bingi, Abimereki kabaka wa Abafirisuuti n'atunula ng'ayima mu ddirisa, n'alaba Isaaka ng'azannyikiriza Lebbeeka, mukazi we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yisaaka bwe yali ng'amazeeyo ennaku nnyingiko, Abimeleki kabaka w'Abafilistiya n'atunula mu ddirisa, n'alaba Yisaaka ng'azannya ne Rebbeeka mukazi we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka, bwe yali yaakamalayo ebiro bingi, Abimereki kabaka wa Abafirisuuti n'atunuulira mu ddirisa, n'alaba, era laba, Isaaka yali ng'azannya ne Lebbeeka mukazi we.