Genesis 26:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'atumya Yizaake n'amugamba nti: “Ono kituufu mukazi wo. Lwaki wagamba nti: ‘Ono mwannyinaze’?” Yizaake n'amugamba nti: “Kuba nalowooza nti nnyinza okufa olw'okubeera ye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abimereki kwe kuyita Isaaka n’amugamba nti, “Ddala, mukazi wo, lwaki wagamba nti, ‘Mwannyinaze’?” Isaaka n’amuddamu nti, “Kubanga nalowooza nti, ‘Nnyinza okufiirwa obulamu bwange ku lulwe.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abimereki n'ayita Isaaka, n'ayogera nti, “Laba, mazima oyo mukazi wo; lwaki wayogera nti mwannyoko?” Isaaka n'amugamba nti, “N'ayogera bwe ntyo, kubanga nnalowooza nti nnyinza okuttibwa ku bubwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abimeleki n'ayita Yisaaka, n'agamba nti: “Ddala ono mukazi wo. Kale lwaki wagamba nti mwannyoko?” Yisaaka n'amugamba nti: “Nalowooza nti bajja kunzita olw'okubeera ye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abimereki n’ayita Isaaka n'amugamba nti Laba mazima ye mukazi wo: naawe wayogera otyo nti ye mwannyinaze? Isaaka n’amugamba nti Kubanga nali njogera nti Nneme okufa ku bubwe.