Genesis 27:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yizaake bwe yakaddiwa, amaaso ge ne gafuma, nga takyalaba. Olumu n'ayita Ezawu mutabani we omukulu nti: “Mwana wange.” Ko ye nti: “Nzuuno.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Isaaka bwe yali ng’akaddiye nnyo n’amaaso ge nga gayimbadde, nga takyayinza kulaba, n’ayita Esawu mutabani we omukulu, n’amugamba nti, “Mutabani,” n’amuddamu nti, “Nze nzuuno.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka Isaaka bwe yamala okukaddiwa, n'amaaso ge nga gayimbadde n'okuyinza nga takyayinza kulaba bulungi, n'ayita Esawu omwana we omubereberye, n'amugamba nti, “Mwana wange;” n'amuddamu nti, “Nze nzuuno.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yisaaka bwe yali ng'akaddiye, era ng'amaaso ge gazzeeko ekifu, nga takyasobola kulaba, n'ayita Esawu mutabani we omukulu, n'amugamba nti: “Mwana wange!” N'addamu nti: “Nzuuno.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka Isaaka bwe yamala okukaddiwa, n'amaaso ge nga gayimbadde n'okuyinza nga takyayinza kulaba, n'ayita Esawu omwana we omubereberye, n'amugamba nti Mwana wange: n'amugamba nti Nze nzuuno.