Genesis 27:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakobo n'agamba Rebekka nnyina nti: “Omanyi nga Ezawu muganda wange muntu wa bwoya, ate nze ndi wa lususu luweweevu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yakobo n’agamba Lebbeeka nnyina nti, “Muganda wange Esawu musajja wa byoya, so nga nze ndi muweweevu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakobo n'agamba Lebbeeka nnyina nti, “Laba, Esawu muganda wange musajja wa bwoya, so nga nze omubiri gwange muweweevu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Yakobo n'agamba Rebbeeka nnyina nti: “Omanyi nga muganda wange Esawu musajja wa bwoya, naye olususu olwange luweweevu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yakobo n'agamba Lebbeeka nnyina nti Laba, Esawu muganda wange ye musajja ow'obwoya, nange omubiri gwange guseerera.