Genesis 27:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nnyina n'amugamba nti: “Ka ekikolimo ekyo kidde ku nze, mwana wange; ggwe wuliriza kye nkugamba; genda oleete bye ŋŋambye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnyina n’amuddamu nti, “Ekikolimo kyo kibe ku nze mwana wange; wulira ekigambo kyange ogende ozindeetere.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnyina n'amugamba nti, “Okukolimirwa kwo kubeere ku nze, mwana wange; wulira kye ŋŋamba ogende ondeetere embuzi ze nkutumye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnyina n'amugamba nti: “Okukolimirwa kwo kubeere ku nze, mwana wange, naye wulira kye nkugamba, ogende ondeetere embuzi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nnyina namugamba nti Okukolimirwa kwo kubeere ku nze, mwana wange: kino kyokka, wulira eddoboozi lyange, ogende obinkimire.