Genesis 27:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agenda, n'aleeta, n'awa nnyina. Nnyina n'afumba emmere ey'akawoowo nga kitaawe bwe yali ayagala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yakobo n’agenda, n’azikwata n’azireeteera nnyina, n’ateekerateekera Isaaka ekyokulya ekiwooma nga bwe yayagala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agenda, n'azikima, n'azireetera nnyina; ne nnyina n'afumba ennyama ey'akawoowo nga kitaawe wa Yakobo bwe yayagala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agenda n'azikwata, n'azireetera nnyina, nnyina n'afumba ennyama ey'akaloosa nga kitaawe wa Yakobo bwe yayagala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agenda, n'abikima, n'abireetera nnyina: nnyina n'alongoosa ennyama ey'akawoowo, nga kitaawe bwe yayagala.