Genesis 27:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Rebekka n'addira engoye za Ezawu mutabani we omukulu ezisingira ddala obulungi ze yalina mu nnyumba n'azambaza Yakobo mutabani we omuto.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lebbeeka n’addira ebyambalo ebisinga obulungi ebya Esawu, mutabani we omukulu, ebyali mu nnyumba; n’abyambaza Yakobo mutabani we omuto,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Lebbeeka n'addira ebyambalo ebirungi ebya Esawu omwana we omubereberye, ebyali naye mu nnyumba, n'abyambaza Yakobo, omwana we omuto;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Rebbeeka n'aggyayo ebyambalo ebya Esawu omwana we omukulu, ebisinga obulungi, bye yali aterese mu nnyumba, n'ayambaza Yakobo omwana we omuto.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Lebbeeka n'addira ebyambalo ebirungi ebya Esawu omwana we omubereberye, ebyali naye mu nnyumba, n'ayambaza ebyo Yakobo omwana we omuto: