Genesis 27:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emikono gye n'agisibako obuliba bw'obubuzi, era n'awaweweevu ku nsingo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era n’addira n’amaliba g’embuzi n’agamwambaza ku mikono ne ku bitundu ebyobulago ebiweweera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'ateeka amaliba g'embuzi ento ku mikono gya Yakobo ne ku nsingo awaweweevu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ateeka amaliba g'embuzi ento ku mikono gya Yakobo, ne ku nsingo awatali bwoya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ateeka amaliba g'abaana b'embuzi ku ngalo ze, ne ku nsiago awaseerera: