Genesis 27:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'addira emmere ey'akawoowo n'emigaati gye yali ateeseteese, n'abikwasa mutabani we Yakobo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alyoka addira ekyokulya ekiwooma n’omugaati bye yafumba, n’abikwasa Yakobo mutabani we.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'awa omwana we Yakobo ennyama ey'akawoowo n'emmere bye yali afumbye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'akwasa omwana we Yakobo ennyama ey'akaloosa, n'emmere bye yali afumbye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'awa omwana we Yakobo mu ngalo ze ennyama ey'akawoowo n'emmere bye yali aloagoosezza.