Genesis 27:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ayingira eri kitaawe n'amuyita nti: “Taata.” Ko ye nti: “Nzuuno. Ggwe ani mwana wange?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yakobo n’agenda eri kitaawe, n’amugamba nti, “Kitange nzuuno.” Ye n’amuddamu nti, “Ggwe ani mwana wange?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakobo n'agenda eri kitaawe, n'ayogera nti, “Kitange” N'addamu nti, “Nze nzuuno; ggwe ani, mwana wange?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakobo n'agenda eri kitaawe, n'agamba nti: “Taata!” N'addamu nti: “Nzuuno. Ggwe ani, mwana wange?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ajja eri kitaawe, n'ayogera nti Kitange: n'ayogera nti Nze nzuuno; ggwe ani, mwana wange?