Genesis 27:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakobo n'agamba kitaawe nti: “Nze Ezawu omuggulanda wo. Nkoze nga bwe wandagidde, situka, tuula olye ku muyiggo gwange olyoke onsabire omukisa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yakobo n’agamba kitaawe nti, “Nze Esawu omwana wo omubereberye, nkoze nga bw’oŋŋambye. Kale kaakano tuula olye ku muyiggo gwange olyoke onsabire omukisa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakobo n'agamba kitaawe nti, “Nze Esawu omwana wo omubereberye; era nkoze nga bwe wandagidde; golokoka, nkwegayirira, otuule olye ku muyiggo gwange, olyoke onsabire omukisa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakobo n'agamba kitaawe nti: “Nze Esawu, omwana wo omuggulanda. Nkoze nga bwe wandagidde. Golokoka, otuule olye ku nnyama gye njizze, olyoke ompe omukisa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yakobo n'agamba kitaawe nti Nze Esawu omwana wo omubereberye; era nkoze nga bw'ondagidde: golokoka, nkwegayirira, otuule olye ku muyiggo gwange, obulamu bwo bunsabire omukisa.