Genesis 27:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yizaake n'addamu mutabani we nti: “Mwana wange, osobodde otya okugwikiriza amangu gati?” Ye n'ayanukula nti: “Omukama Katonda wo y'ampadde eggwiiso.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Isaaka n’abuuza mutabani we nti, “Ogufunye otya amangu bw’otyo?” N’amuddamu nti, “ Mukama Katonda wo ampadde omukisa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Isaaka n'agamba omwana we nti, “Kiki ekikugulabisizza amangu bwe kityo, mwana wange?” N'ayogera nti, “Kubanga Mukama Katonda wo ambedde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yisaaka n'agamba mutabani we nti: “Ogizudde otya amangu bw'otyo, mwana wange?” Yakobo n'addamu nti: “Mukama Katonda wo annyambye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Isaaka n'agamba omwana we nti Kiki ekikugulabisizza amangu bwe kityo, mwana wange? N'ayogera nti Kubanga Mukama Katonda wo ambedde.