Genesis 27:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yizaake n'agamba Yakobo nti: “Sembera wano nkukwateko, mwana wange, nkakase oba ggwe mwana wange Ezawu, oba nedda.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Isaaka n’agamba mutabani we nti, “Sembera wendi mutabani, nkukwateko, ntegeerere ddala nga ggwe mutabani wange Esawu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Isaaka n'agamba Yakobo nti, “Sembera, nkwegayiridde, nkuweeweeteko, mwana wange, oba ggwe mwana wange Esawu ddala ddala, nantiki si ye ggwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yisaaka n'agamba Yakobo nti: “Kale sembera wano, nkuweeweeteko, mwana wange, mmanye oba nga ddala gwe mwana wange Esawu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Isaaka n'agamba Yakobo nti Sembera, nkwegayiridde, nkuweeweeteko, mwana wange, oba ggwe mwana wange Esawu ddala ddala nantiki si ye wuuyo.