Genesis 27:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakobo n'asembera awali kitaawe. Yizaake n'agenda ng'amukwatako, n'agamba nti: “Lyo eddoboozi, ddoboozi lya Yakobo, naye emikono, mikono gya Ezawu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yakobo kwe kusembera awali Isaaka kitaawe. Bwe yamuwulira n’agamba nti, “Eddoboozi lya Yakobo naye emikono gya Esawu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yakobo n'asemberera Isaaka kitaawe; n'amuweeweetako, n'ayogera nti, “Eddoboozi ly'eddoboozi lya Yakobo, naye engalo z'engalo za Esawu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yakobo n'asemberera Yisaaka kitaawe, Yisaaka n'amuweeweetako, n'agamba nti: “Eddoboozi lya Yakobo, naye emikono gya Esawu!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yakobo n'asemberera Isaaka kitaawe; n'amuweeweetako, n'ayogera nti Eddoboozi ly'eddoboozi lya Yakobo, naye engalo z'engalo za Esawu.