Genesis 27:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Teyamutegeera, kubanga emikono nga gifaananira ddala egya muganda we Ezawu egy'obwoya. N'amuwa omukisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’atamutegeera kubanga emikono gye gyaliko obwoya ng’egya Esawu muganda we, kwe kumuwa omukisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'atamutegeera bulungi, kubanga engalo ze zaaliko obwoya, ng'engalo za muganda we Esawu; kale n'amusabira omukisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'atamutegeera, kubanga emikono gye gyaliko obwoya ng'egya muganda we Esawu. Yali anaatera okumuwa omukisa
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atamwekkaanya, kubanga engalo ze zaaliko obwoya, ng'engalo za muganda we Esawu: kale n'amusabira omukisa.