Genesis 27:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amugamba nti: “Mwana wange, ndeetera ndye ku muyiggo gwo ndyoke nkuwe omukisa.” Yakobo n'amuleetera n'alya; n'amuwa n'evviini n'anywa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alyoka amugamba nti, “Kale gundeetere, ndye ku muyiggo gwa mutabani wange, nkusabire omukisa.” N’alyoka agumuleetera, n’alya era n’amuleetera n’envinnyo n’anywa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogera nti, “Gunsembereze, nange n'alya ku muyiggo ogw'omwana wange, ndyoke nkusabire omukisa.” N'agusembeza gy'ali, n'alya; n'amuleetera n'omwenge n'anywa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yisaaka n'agamba nti: “Nsembereza ebyo by'oyizze, mwana wange, ndye ndyoke nkusabire omukisa.” Yakobo n'abimusembereza, n'alya. Era n'amuleetera n'omwenge ogw'emizabbibu n'anywa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Gunsembereze, nange n'alya ku muyiggo ogw'omwana wange, obulamu bwange bukusabire omukisa. N'agusembeza gy'ali, n'alya; n'amuleetera omwenge, n'anywa.