Genesis 27:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amawanga gakuweereze, n'abantu bakuvunnamire; beera mukama wa baganda bo. Abaana ba nnyoko bakuvunnamire. Akukolimira, naye akolimirwe, akuwa omukisa, naye gumuweebwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bakuweerezenga, n’amawanga gakuvuunamirenga. Fuganga baganda bo, ne batabani ba nnyoko bakuvuunamirenga. Akolimirwe oyo anaakukolimiranga era aweebwenga omukisa oyo anaakusabiranga omukisa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bakuweerezenga N'amawanga gakuvuunamirenga; Ofugenga baganda bo, N'abaana ba nnyoko bakuvuunamirenga; Akolimirwenga buli akukolimira, Era aweebwenga omukisa buli akusabira omukisa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bakuweerezenga, n'amawanga gakuvuunamirenga. Ofugenga baganda bo n'abaana ba nnyoko bakuvuunamirenga. Buli akukolimira akolimirwenga, era buli akusabira omukisa, naye gumuweebwenga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu bakuweerezenga N'amawaanga gakuvuunamirenga: Ofugenga baganda bo, N'abaana ba nayoko bakuvuunamirenga: Akolimirwenga buli akukolimira, Era aweebwenga omukisa buli akusabira omukisa.