Genesis 27:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kale ddira by'oyiggisa: akasaale n'omutego, ogende ku ttale onjiggireyo ku muyiggo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale kaakano kwata by’oyizza, omutego gwo n’obusaale bwo, ogende mu nsiko onjiggire yo omuyiggo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale kaakano nkwegayirira, ddira by'oyizza; ensawo yo n'omutego gwo, ogende mu nsiko, onjiggire omuyiggo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano, kwata omutego gwo n'obusaale bwo bw'oyiggisa, ogende mu ttale onjiggire ensolo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale kaakano nkwegayirira, ddira by'oyizza, omufuko gwo n'omutego gwo, ogende mu nsiko, onjiggire omuyiggo;