Genesis 27:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yizaake aba ky'ajje amale ati okuwa Yakobo omukisa, nga ne Yakobo tannaggwerayo okuva mu maaso ge, Ezawu muganda we n'akomawo mu kuyigga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amangu ddala nga Isaaka yakamala okuwa Yakobo omukisa, era nga Yakobo tannava wali Isaaka kitaabwe, Esawu n’atuuka ng’ava okuyigga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka, Isaaka bwe yali nga kyajje amale okusabira Yakobo omukisa, ne Yakobo ng'akyaliwo, nga tannaviira ddala awali Isaaka kitaawe, Esawu muganda we, n'alyoka ayingira ng'avudde okuyigga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yisaaka bwe yali nga yaakamala okusabira Yakobo omukisa, era nga Yakobo tannava awali Yisaaka kitaawe, Esawu muganda we n'ayingira ng'ava okuyigga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka, Isaaka bwe yali nga kyajje amale okusabira Yakobo omukisa, ne Yakobo ng'akyaliwo tannaviira ddala eri Isaaka kitaawe, Esawu muganda we n’alyoka ayingira ng'avudde okuyigga.