Genesis 27:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye n'ateekateeka emmere ey'akawoowo, n'aleetera kitaawe, n'amugamba nti: “Taata, situka olye ku muyiggo gwange, olyoke ompe omukisa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era naye n’ateekateeka emmere ey’akawoowo n’agireetera kitaawe. N’agamba kitaawe nti, “Kitange golokoka olye ku muyiggo gw’omwana wo olyoke onsabire omukisa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'afumba ennyama ey'akawoowo, n'agireetera kitaawe; n'agamba kitaawe nti, “Kitange golokoka olye ku muyiggo ogw'omwana wo, olyoke omusabire omukisa”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era naye n'afumba ennyama ey'akaloosa, n'agitwalira kitaawe. N'agamba kitaawe nti: “Taata, golokoka olye ku nnyama nze omwana wo gye njizze, olyoke ompe omukisa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye n'alongoosa ennyama ey'akawoowo, n'agireetera kitaawe; n'agamba kitaawe nti Kitange agolokoke, alye ku muyiggo ogw'omwana we, obulamu bwo bunsabire omukisa.