Genesis 27:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yizaake n'akankana nnyo ekiyitiridde, n'agamba nti: “Ate ani oyo eyanjiggidde omuyiggo, n'andeetera, ne ndya ggwe nga tonnajja? Mmuwadde omukisa, era ajja kusigala ng'aguweereddwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwo Isaaka n’akankana nnyo n’abuuza nti, “Ani oyo ayizze omuyiggo n’agundeetera ne ngulya ne ngumalawo nga tonnajja ne mmusabira omukisa? Era ddala ajja kuweebwa omukisa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Isaaka n'akankana nnyo nnyini; n'ayogera nti, “Kale ani oyo eyayizze omuyiggo n'agundeetera? Nange ndidde ku byonna nga tonnajja, ne musabira omukisa, era aguweereddwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yisaaka n'akankana nnyo nnyini, n'agamba nti: “Kale oyo abadde ani eyayizze ensolo n'andeetera ennyama ne ngirya, nga tonajja, ne mmuwa omukisa? Era ddala gulimuweebwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Isaaka n'akankana nnyo nayini, n'ayogera nti Kale ani oyo eyayizze omuyiggo n’agundeetera, nange ndidde ku byonna nga tonnajja, ne mmusabira omukisa? era naye n'okuweebwa aliweebwa omukisa.
Recommended Reading