Genesis 27:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ezawu bwe yawulira ebigambo bya kitaawe, n'akuba omulanga munene ng'anyolwa nnyo, n'agamba kitaawe nti: “Taata, nange mpa omukisa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Esawu bwe yawulira ebigambo bya kitaawe ebyo, n’atulika n’akaaba nnyo nnyini, n’agamba kitaawe nti, “Nange mpa omukisa, ayi kitange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Esawu bwe yawulira ebigambo bya kitaawe, n'akaaba nnyo n'eddoboozi eddene ng'anakuwadde. N'agamba kitaawe nti, “Ayi kitange, nange nsabira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Esawu bwe yawulira kitaawe by'ayogedde, n'atema emiranga n'akaaba nnyo olw'okunakuwala, n'agamba kitaawe nti: “Taata, nkwegayiridde, nange mpa omukisa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Esawu bwe yawulira ebigambo bya kitaawe, n'akaaba okukaaba okunene ennyo era okw'ennaku enayingi, n'agamba kitaawe nti Nsabira nze, era nange, ai kitange.