Genesis 27:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ezawu n'agamba nti: “Erinnya erya Yakobo lyamutuuka, laba wuuno annimbye n'omulundi omulala: mu kusooka, yantwalako obukulu bwange obw'obuggulanda, ate kati atutte omukisa gwange.” Kwe kumuddira n'amugamba nti: “Tewanterekeddeyo mukisa na gumu?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Esawu n’ayogera nti, “Teyatuumibwa linnya lye Yakobo? Laba, anyingiridde emirundi gino gyombi; yanziggyako eby’obukulu bwange, ate kaakano antutteko n’omukisa gwange.” Kwe kubuuza kitaawe nti, “Tondekeddeewo mukisa n’akatono?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogera nti, “Kyeyava atuumibwa Yakobo? Kubanga guno omulundi gwa kubiri ng'annyingirira mu byange. Laba yanzigyako eby'obukulu bwange, ate ne kaakano anzigyeko omukisa gwange!” N'agamba kitaawe nti, “Tonterekeddeyo nange mukisa?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Esawu n'agamba nti: “Si kyeyava ayitibwa Yakobo? Lyamutuukira ddala bulungi, kubanga guno omulundi gwakubiri ng'atwala ekifo kyange. Yanzigyako obukulu bwange, ne kaakano laba anzigyeeko omukisa gwange.” Awo n'agamba nti: “Nze tonterekeddeeyo ku mukisa?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Teyatuumibwa bulungi erinnya lye Yakobo? kubanga annyingiriridde mu byange emirundi gino gyombi: yanziyako eby'obukulu bwange; ne kaakano, laba anziyeeko omukisa gwange. N'ayogera nti Tonterekedde nange mukisa?