Genesis 27:37 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yizaake n'ayanukula nti: “Mmufudde mukama wo, ne baganda be bonna ba kumuweereza, eŋŋano n'evviini ensu si bya kumuggwangako. Kati, mwana wange, ggwe nnaakukolera ki?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Isaaka n’addamu Esawu nti, “Laba, mmufudde mukama wo, era mmuwadde baganda be bonna babe baweereza be, era mmusabidde abe n’emmere ey’empeke wamu n’envinnyo nga bingi ddala. Kale nnaakukolera ki mwana wange?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Isaaka n'addamu n'agamba Esawu nti, “Laba, mmuwadde okukufuganga ggwe, ne baganda be bonna mbamuwadde okumuweerezanga; era mmujjanjabye n'eŋŋaano n'omwenge; kale kiki kye nnaakukolera ggwe, mwana wange?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yisaaka n'addamu nti: “Mmufudde mukama wo, era mmuwadde baganda be bonna babenga baweereza be, era mmuwadde eŋŋaano n'omwenge ogw'emizabbibu. Kale kiki kye nnaakukolera ggwe mwana wange?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Isaaka n'addama n'agamba Esawu nti Laba, mmuwadde okukufuganga ggwe, ne baganda be bonna mbawadde eri ye okumuweerezanga; era mmujjaajabye n'eŋŋaano n'omwenge: kale kiki kye nnaakukolera ggwe, mwana wange?