Genesis 27:38 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ezawu n'agamba kitaawe nti: “Taata, omukisa olinayo gumu gwokka? Nkwegayiridde, nange mpa omukisa.” Ezawu n'akuba omulanga ogw'omwanguka n'akaaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Esawu n’abuuza kitaawe nti, “Tolinaawo mukisa na gumu kitange? Nange mpa omukisa, ayi kitange.” Bw’atyo Esawu n’ayimusa eddoboozi lye n’akaaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Esawu n'agamba kitaawe nti, “Olina omukisa gumu gwokka, kitange? Nkwegayiridde, nange nsabira” Esawu n'ayimusa eddoboozi lye, n'akaaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Esawu n'awanjagira kitaawe nti: “Olina omukisa gumu gwokka, taata? Mpa nange omukisa, ayi kitange!” N'aleekaana nnyo, n'akaaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Esawu n'agamba kitaawe nti Olina omukisa gumu gwokka, kitange? nsabira nze, era nange, ai kitange. Esawu n'ayimusa eddoboozi lye, n'akaaba.