Genesis 27:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yizaake n'amugamba nti: “Ewala okuva ku bugagga bw'ettaka ekisulo kyo gye kinaabeeranga; ewala okuva ku musulo ogugwa okuva mu ggulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Isaaka kitaawe n’amuddamu nti, “Laba, onooberanga mu nsi enkalu, era toofunenga musulo guva waggulu mu ggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Isaaka kitaawe n'amusabira nti, “Laba, ennyumba yo eneebanga ya bugimu bwa nsi, Era ya musulo oguva mu ggulu waggulu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yisaaka kitaawe n'amuddamu nti: “Ennimiro zo teziibengamu bugimu, era toofunenga musulo oguva mu ggulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Isaaka kitaawe n'addamu n'amugamba nti Laba, ennyumba yo eneebanga ya bugimu bwa nsi, Era ya musulo oguva mu ggulu waggulu;