Genesis 27:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ontegekere emmere ey'akawoowo nga bwe njagala, ondeetere ndye; ndyoke nkuwe omukisa nga sinnafa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onteekereteekere ekyokulya ekiwooma ennyo kye njagala, okindeetere nkirye, ndyoke nkusabire omukisa nga sinnafa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era onfumbire ennyama ey'akawoowo, nga bwe njagala, ogindeetere ndye; obulamu bwange bukusabire omukisa nga sinnafa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
onfumbire ennyama ey'akaloosa gye njagala, ogindeetere ndye, ndyoke nkuwe omukisa nga sinnafa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era onnongooseze ennyama ey'akawoowo, nga bwe njagala, ogindeetere, ndye; obulamu bwange bukusabire omukisa nga sinnafa.