Genesis 27:40 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obulamu onoobuggyanga mu kitala kyo, era onooweerezanga muganda wo. Obudde bulituuka ne weesimmattula, ekikoligo kye n'okyeyambula ku nsingo yo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekitala kyo kye kinaakukuumanga, era onooweerezanga muganda wo. Naye bw’olimwesimattulako, oliba weefunidde eddembe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ekitala kyo kye kinaakuwanga obulamu, era onooweerezanga muganda wo; Era olulituuka bw'olyesumattula, Oryeyambula ekikoligo kye okuva mu bulago bwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oneeyimirizangawo na kitala kyo, era onooweerezanga muganda wo. Naye bw'olyesumattula, olyeyambula ekikoligo kye mu bulago bwo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ekitala kyo kye kinaakuwanga obulamu, era onooweerezanga muganda wo; Era olulituuka bw'olyesumattula, Olikunkumula ekikoligo kye okuva mu bulago bwo.