Genesis 27:41 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ezawu n'akyawa Yakobo olw'omukisa kitaawe gwe yali amuwadde. N'agamba muli mu mutima gwe nti: “Ennaku ez'okukungubagira kitange zisembedde, oluvannyuma ŋŋenda kutta Yakobo muganda wange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Esawu n’akyawa muganda we Yakobo ng’amulanga omukisa kitaabwe gwe yamuwa. Esawu n’alyoka ayogera nti, “Ennaku ez’okukungubagira kitange zinaatera okutuuka. Bwe zirituuka, muganda wange Yakobo nga mutta.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Esawu n'akyawa Yakobo olw'omukisa kitaawe gwe yamusabira; Esawu n'ayogera mu mutima gwe nti, “Ennaku ez'okukaabira kitange ng'afudde bwe zirituuka ne ndyoka nzita muganda wange Yakobo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Esawu n'akyawa Yakobo, olw'omukisa kitaawe gwe yamuwa. Esawu n'agamba mu mutima gwe nti: “Ennaku ez'okukungubagira kitange ng'afudde, zinaatera okutuuka. Bwe zirituuka, nditta muganda wange Yakobo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Esawu n'akyawa Yakobo olw'omukisa kitaawe gwe yamusabira: Esawu n'ayogera mu mutima gwe nti Ennaku ez'okukaabira kitange ziriteta okutuuka; ne ndyoka nzita muganda wange Yakobo.