Genesis 27:42 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Rebekka bwe yabuulirwa ebigambo bya Ezawu mutabani we omukulu, n'atumya Yakobo, mutabani we omuto, n'amugamba nti: “Ezawu muganda wo wuuno ayagala yeekubagize ng'akutta.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka Lebbeeka n’atuusibwako ebigambo bya Esawu mutabani we omukulu; kwe kutumya Yakobo mutabani we omuto, n’amugamba nti, “Laba, Esawu muganda wo ateekateeka okukutta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne babuulira Lebbeeka ebigambo bya Esawu omwana we omubereberye; n'atuma n'ayita Yakobo omwana we omuto, n'amugamba nti, “Laba, muganda wo Esawu, mu bigambo byo, yeesanyusa, ng'ateesa okukutta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Rebbeeka bwe yawulira ebyo Esawu omwana we omukulu by'ateesa okukola, n'atumya Yakobo omwana we omuto, n'amugamba nti: “Laba muganda wo, ateesa okukutta, alyoke yeemale ekiruyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne babuulira Lebbeeka ebigambo bya Esawu omwana we omubereberye; n'atuma n'ayita Yakobo omwana we omuto, n'amugamba nti Laba, muganda wo Esawu, mu bigambo byo, yeesanyusa, ng'ateesa okukutta.