Genesis 27:45 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'anakka nga yeerabidde bye wamukola, olwo ndikutumya ne nkukomyawo eno. Saagala kubafiirwa mwembi ku lunaku lumu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obusungu bwe buliba bumuweddeko, nga yeerabidde ky’omukoze, ne ndyoka ntuma ne bakunona. Kale lwaki mbafiirwa mwembi ku lunaku olumu?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga yeerabidde kye wamukola. Olwo ndikutumira n'olyoka okomawo. Ssaagala kubafiirwa mwembi ku lunaku lumu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne yeerabira kye wamukola. Olwo ndituma ne nkuggyayo. Ssaagala kubafiirwa mwembi ku lunaku lumu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
obusungu bwa muganda wo lwe bulyekooloobya gy'oli, naye lw'alyerabira kye wamukolera: ne ndyoka ntuma, ne nkuggyayo: kiki ekyandinfiisizzaako mmwe mmwembi ku lunaku olumu?