Genesis 27:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Genda ondeetereyo omuyiggo, ontegekere emmere ey'akawoowo nga bwe njagala, ndye, ndyoke nkusabire omukisa ew'Omukama nga sinnafa.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
‘Ndeetera omuyiggo onteekereteekere ekyokulya ekiwooma obulungi, nkirye, ndyoke nkusabire omukisa eri Mukama nga sinnafa.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
‘Ndeetera omuyiggo, onnongooseze ennyama ey'akawoowo, ndye, nkusabire omukisa mu maaso ga Mukama nga sinnafa.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
‘Njiggira ensolo, onfumbire ennyama ey'akaloosa, ngirye, ndyoke nkuwe omukisa mu maaso ga Mukama nga sinnafa.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ndeetera omuyiggo, onnongooseze ennyama ey'akawoowo, ndye, nkusabire omukisa mu maaso ga Mukama nga sinnafa.