Genesis 28:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yizaake n'ayita Yakobo, n'amuwa omukisa era n'amukuutira nti: “Towasanga mukazi Mukanaani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Isaaka n’ayita Yakobo n’amuwa omukisa, n’amukuutira nti, “Towasanga, wadde omu ku bakazi Abakanani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Isaaka n'ayita Yakobo, n'amusabira omukisa, n'amukuutira, n'amugamba nti, “Towasanga omukazi omukanani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yisaaka n'ayita Yakobo n'amuwa omukisa, n'amukuutira nti: “Towasanga mukazi Muhiiti.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Isaaka n'ayita Yakobo, n'amusabira omukisa, n'amukuutira, n'amugamba nti Towasanga mukazi ku bawala ba Kanani.