Genesis 28:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yatuuka mu kifo ekimu, n'ayagala asule awo kubanga enjuba yali egudde. N'addira erimu ku mayinja agaali awo n'alizizika omutwe ne yeebaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’addira erimu ku mayinja agaali mu kifo ekyo, n’alyezizika ne yeebaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'atuuka mu kifo ekimu, n'asulawo, kubanga enjuba yali egudde; n'addira erimu ku mayinja ag'omu kifo ekyo, n'alyezizika wansi w'omutwe gwe, n'agalamira okwebaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'atuuka mu kifo ekimu, n'asula awo, kubanga enjuba yali egudde. N'addira erimu ku mayinja ag'omu kifo ekyo, n'alizizikako omutwe gwe, n'agalamira okwebaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atuuka mu kifo, n'asulawo n'akeesa obudde, kubanga enjuba yali egudde; n'atwala erimu ku mayinja ag'omu kifo, n'alyezizika wansi w'omutwe gwe, n'agalamira mu kifo ekyo okwebaka.