Genesis 28:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'aloota ng'alaba eddaala lisimbye ku nsi ate omutwe gwalyo nga gukutte ku ggulu; bamalayika ba Katonda nga balinnya nga bakka ku lyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’aloota ng’alaba eddaala eggwanvu nga liva ku nsi okutuuka mu ggulu, era nga bamalayika ba Katonda balikkirako era nga balinnyirako,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'aloota ng'alaba amadaala agasimbiddwa ku ttaka, n'entikko yaago ng'etuuka mu ggulu, era laba, bamalayika ba Katonda nga balinnya, era nga bakka ku go.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'aloota ng'alaba amadaala agasimbiddwa ku ttaka, entikko yaago ng'etuuka mu ggulu, bamalayika ba Katonda nga balinnya, era nga bakka ku go,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aloota ekirooto, era, laba, amadaala agaasimbibwa ku ttaka, n'entikko yaago ng'etuuse muggulu: era laba bamalayika ba Katonda nga balinnya era nga bakka ku go.